Jeremiah 2

Isirayiri eva ku Katonda

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, 2 a“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
mu nsi etali nnime.
3 bIsirayiri wali mutukuvu wa Mukama,
ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;
bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,
akabi nga kabatuukako,’ ”
bw’ayogera Mukama Katonda.

4Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo,
era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.
5 cBw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako
ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?
Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu
nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
6 dNe batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
7 eNe mbaleeta mu nsi engimu,
mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.
Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,
ne mufuula omugabo gwange ekivume.
8 fBakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?”
Abo abakola ku mateeka tebammanya.
Abakulembeze ne banjeemera.
Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.

9 g“Kyenva nnyongera okubalumiriza,”
bw’ayogera Mukama,
“Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
10Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;
era mutume e Kedali, mwetegereze.
Mujja kulaba nga tekibangawo.
11 hWaali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,
wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?
Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe
n’ebitagasa.
12Wewuunye ggwe eggulu,
era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”
bw’ayogera Mukama.
13 i“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,
banvuddeko
nze ensulo ey’amazzi amalamu
ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,
ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”

Ebyava mu kubula kwa Isirayiri

14 j“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?
Kale lwaki afuuse omuyiggo?
15 kBamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
16 lAte era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi
bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
17 mSi ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo,
eyakukulemberanga
akulage ekkubo?
18 nKaakano olowooza onooganyulwamu ki
okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
19 oEbibi byo byennyini bye biri kubonereza,
n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.
Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo,
n’oba nga tokyantya,”
bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 p Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
wakuba obwamalaaya
ng’ovuunamira bakatonda abalala.
21 qSonga nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,
ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,
naye ate lwaki oyonoonese
n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
22Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,
naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo
bisigala bikyalabika,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
23 rOyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,
sigobereranga ba Baali?”
Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;
tegeera kye wakola.
Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro
ngeraga eno n’eri,
24 sng’endogoyi ey’omu nsiko
eddukira mu ddungu mw’emanyidde,
ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,
mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?
Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;
mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
25 tTokooya bigere byo,
era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
nteekwa okubanoonya.”

26 uNg’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
era ne bannabbi baayo,
27 vnga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
28 wKale bakatonda be weekolera baluwa?
Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.
Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe
bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.

Okubonerezebwa kutuuse

29 x“Lwaki munneemulugunyiza?
Mwenna mwanneeddiimira,”
bw’ayogera Mukama.
30 yAbaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,
tebakkiriza kugololwa.
Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe
ng’empologoma bw’etta.
31 zMmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.

Mbadde nga ddungu gye muli
ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
“Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
Bannerabidde!
33Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 aaEngoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35 abogamba nti, “Sirina musango,
ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 acLwaki ogenda ng’okyusakyusa
amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 adEra n’eyo olivaayo
ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
tagenda kukuyamba.
Copyright information for LugEEEE